Job 24

1 a“Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera?
Lwaki abo abamumanyi tebalaba nnaku zaageze?
2 bAbantu bajjulula amayinja agalamba ensalo,
ne balunda ebisolo bye babbye.
3 cBatwala endogoyi ya mulekwa
ne batwala ennume ya nnamwandu ng’omusingo.
4 dBasindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo,
ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka.
5 eEndogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa,
n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere;
mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe.
6Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye,
ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi.
7 fOlw’okubulwa engoye, basula bwereere;
tebalina kye beebikka mu mpewo.
8 gEnkuba y’oku nsozi ebatobya,
ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama.
9 hOmwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere;
omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.
10Olw’okubulwa engoye bayita bwereere;
betikka ebinywa by’emmere naye basigala tebalidde.
11Basogolera emizabbibu ku mayinja,
ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta.
12 iOkusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga,
n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi.
Naye Katonda talina gw’asinzisa musango.

13 j“Waliwo abo abajeemera omusana,
abatamanyi makubo ge,
abatasigala mu kwaka kwagwo.
14 kOmutemu agolokoka nga obudde buzibye
n’atta omwavu n’ali mu kwetaaga;
ekiro abbira ddala.
15 lEriiso ly’omwenzi lirinda buzibe,
ng’agamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’
n’abikka ne ku maaso ge.
16 mMu kizikiza mwe basimira amayumba,
kyokka emisana baba beggalidde.
Tebaagala kitangaala.
17Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya.
Kubanga bakola omukwano n’ebitiisa eby’omu nzikiza.
18 nBali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi,
era omugabo gwabwe mukolimire mu nsi.
Tewali musogozi n’omu alaga mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu.
19 oNga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira,
aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe.
20 pOlubuto lunaamwerabiranga;
envunyu eneemulyanga n’ewoomerwa.
Tajjukirwenga nate,
omukozi w’ebibi amenyeka ng’omuti.
21 qBayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala.
Tebakolera nnamwandu bya kisa.
22 rNaye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe.
Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe.
23 sAyinza okubaleka ne babeera mu mirembe
n’amaaso ge gabeera ku makubo gaabwe.
24 tBayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo.
Bakkakkanyizibwa ne bakala ne baggyibwawo nga abalala bonna.
Basalibwa ng’emitwe gy’ebirimba by’eŋŋaano.

25 u“Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba,
n’afuula okwogera kwange okutaliimu?”
Copyright information for LugEEEE